1
Olubereberye 32:28
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
N'ayogera nti, “Erinnya lyo terikyali Yakobo, wabula onooyitibwanga Isiraeri, kubanga owakanye ne Katonda, n'abantu, era owangudde.”
Compare
Explore Olubereberye 32:28
2
Olubereberye 32:26
N'agamba Yakobo nti, “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'ayogera nti, “Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.”
Explore Olubereberye 32:26
3
Olubereberye 32:24
Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala.
Explore Olubereberye 32:24
4
Olubereberye 32:30
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penueri, ng'agamba nti, “Ndabaganye ne Katonda maaso n'amaaso ne nsigala nga ndi mulamu.”
Explore Olubereberye 32:30
5
Olubereberye 32:25
Awo omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoma ku bbunwe; bbunwe wa Yakobo n'anuuka ng'ameggana naye.
Explore Olubereberye 32:25
6
Olubereberye 32:27
Omusajja n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amuddamu nti, “Nze Yakobo.”
Explore Olubereberye 32:27
7
Olubereberye 32:29
Yakobo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Omusajja n'addamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'amuweera mu kifo ekyo omukisa.
Explore Olubereberye 32:29
8
Olubereberye 32:10
sisaanira, n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yoludaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibiina bibiri.
Explore Olubereberye 32:10
9
Olubereberye 32:32
N'okutuusa kaakati Abaisiraeri kye bava tebalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoma.
Explore Olubereberye 32:32
10
Olubereberye 32:9
Yakobo n'ayogera nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ayi Mukama, eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange nnaakukolanga bulungi,’
Explore Olubereberye 32:9
11
Olubereberye 32:11
Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange Esawu, kubanga mmutya, aleme okunzita n'abaana bange ne bannyaabwe.
Explore Olubereberye 32:11
Home
Bible
Plans
Videos