Лого на YouVersion
Иконка за търсене

Olubereberye 17

17
1 # Lub 24:40, Yob 1:1, Mat 5:48 Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu. 2#Lub 13:16Nange ndiragaana endagaano yange nze naawe, era ndikwaza nnyo. 3#Lub 17:17, Kubal 16:22; 20:6Ibulaamu n'avuunama amaaso ge: Katonda n'ayogera naye nti 4#Bar 4:11,12Nze, laba, endagaano yange eri naawe, naawe oliba kitaawe w'amawanga amangi. 5#Nek 9:7, Bar 4:17So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi. 6#Lub 35:11Era ndikwaza nnyo, era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 7#Bag 3:17, Beb 11:16Era ndinyweza endagaano yange nze naawe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna okuba endagaano eteridiba, okuba Katonda eri ggwe n'eri ezzadde lyo eririddawo. 8#Lub 13:15, Kuv 6:7; 29:45, Leev 26:12, Zab 48:14; 105:11, Kub 21:7Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo eririddawo ensi gye watambulirangamu, ensi yonna eya Kanani, okugirya emirembe gyonna; era nze naabeeranga Katonda waabwe. 9Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna. 10Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga. 11#Bik 7:8, Bar 4:11Era munaakomolwanga omubiri gw'ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak'endagaano eri nze nammwe. 12#Kuv 12:48, Leev 12:3, Luk 1:59; 2:21Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyo munnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe. 13Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba. 14N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange.
15Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi we, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye. 16#Lub 18:10; 35:11Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye. 17#Lub 17:3; 18:12Ibulayimu n'alyoka avuunama amaaso ge, n'aseka, n'ayogera mu mutima gwe nti Omwana alizaalirwa oyo eyaakamaze emyaka ekikumi? era ne Saala, eyaakamaze emyaka ekyenda, alizaala? 18Ibulayimu n'agamba Katonda nti Singa Isimaeri anaabanga mulamu mu maaso go! 19#Lub 18:10; 21:2Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: nange naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo. 20#Lub 16:10; 21:13,18N'ebya Isimaeri, nkuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene. 21#Lub 21:2; 26:2-5Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja. 22#Lub 35:13N'aleka okwogera naye, Katonda n'alinnya n'ava eri Ibulayimu. 23Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba. 24Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 25Ne Isimaeri omwana we yali yaakamaze emyaka kkumi n'esatu, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 26Ku lunaku lumu Ibulayimu n'akomolebwa ne Isimaeri omwana we. 27N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye.

Избрани в момента:

Olubereberye 17: LUG68

Маркирай стих

Споделяне

Копиране

None

Искате ли вашите акценти да бъдат запазени на всички ваши устройства? Регистрирайте се или влезте