YOWANNE 11:43-44

YOWANNE 11:43-44 LBWD03

Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!” Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”