1
EBIKOLWA 1:8
Luganda DC Bible 2003
Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.”
Параўнаць
Даследуйце EBIKOLWA 1:8
2
EBIKOLWA 1:7
Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe.
Даследуйце EBIKOLWA 1:7
3
EBIKOLWA 1:4-5
Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.” Yowanne yabatiza na mazzi, kyokka mmwe mu nnaku ntono, mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.
Даследуйце EBIKOLWA 1:4-5
4
EBIKOLWA 1:3
Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda.
Даследуйце EBIKOLWA 1:3
5
EBIKOLWA 1:9
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba.
Даследуйце EBIKOLWA 1:9
6
EBIKOLWA 1:10-11
Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo. Abasajja abo ne babuuza abatume nti: “Abasajja ab'e Galilaaya, lwaki muyimiridde nga mutunuulira waggulu? Oyo Yesu abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, alikomawo bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
Даследуйце EBIKOLWA 1:10-11
Стужка
Біблія
Пляны чытаньня
Відэа