1
Olubereberye 17:1
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n'amulabikira n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu.
አወዳድር
{{ጥቅስ}} ያስሱ
2
Olubereberye 17:5
Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu; kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.
3
Olubereberye 17:7
Naanywezanga endagaano gye nkoze naawe, era n'ezzadde lyo eririddawo, okuba endagaano eteridiba emirembe gyonna. N'abanga Katonda wo, era Katonda w'ezzadde lyo.
4
Olubereberye 17:4
“Laba, nkoze endagaano naawe. Oliba jjajja w'amawanga amangi.
5
Olubereberye 17:19
Katonda n'ayogera nti, “Nedda, Saala mukazi wo alikuzaalira omwana ow'obulenzi, naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka. Naanywezanga endagaano yange naye, n'ezzadde lye emirembe gyonna, okuba endagaano eteriggwaawo.
6
Olubereberye 17:8
Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo, ensi eno mw'oli. Ensi yonna eya Kanani eriba ya zzadde lyo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.”
7
Olubereberye 17:17
Ibulayimu n'alyoka yeeyala ku ttaka nga yeevuunise, n'aseka n'ayogera mu mutima gwe nti, “Oyo awezezza emyaka ekikumi (100) alizaalirwa omwana? Ne Saala awezezza emyaka ekyenda (90) alizaala?”
8
Olubereberye 17:15
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Mukazi wo tokyamuyitanga Salaayi, naye erinnya lye linaabanga Saala.
9
Olubereberye 17:11
Era munaakomolwanga ekikuta ky'omubiri gwammwe; ako kanaabanga akabonero ak'endagaano wakati wammwe nange.
10
Olubereberye 17:21
Naye endagaano yange n'aginywezanga na Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu kiseera ekyateekebwawo, omwaka ogujja.”
11
Olubereberye 17:12-13
Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga. Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe.
Home
Bible
Plans
Videos